Tewali Mu Nsi Muno Mulongonfu

Song Lyrics

Tewali Mu Nsi Muno Mulongonfu

Enyimba Za Kristo · Luganda
Present

Lyrics

Font size:
[1]
Tewali munsi muno mulongofu
Kubanga ffena twayonona;
Wabula Kristo eyatulongosa
N'omuayi gwe, Omulokozi.

CHORUS
Mu musaayi munaabe
ogunaaza mmwe buli kibi;
Mmwe temulitulul(a) awatali ye;
munaabe mu musaayi gwa Yesu.

[2]
Omusaayi gwa Yesu gubanaza Nnyo
Abagwagwa ab'omu mwoyo;
Kale temulwa, naye muyanguwe
Okunaaza emyoyo gyammwe.

[3]
Bw,alikomawo nat(e) Omulokozi
N'amaanyi n'ekitiibwa kingi,
Abatananaba baliyingira
Mu mbaga y'obugole batya?

[4]
Bality(a) okulabika mu maaso ge,
Okutya kuliba kwerere:
Naye leero muyinz(a) okulokoka
Olwa' okwagala kwe okungi.

Support My Songbooks

Help us expand our library and keep the music alive for everyone. Even a small donation goes a long way.

Buy me a coffeeBuy us a coffee