Nalyoka Ne Nkusenga Ggwe

Song Lyrics

Nalyoka Ne Nkusenga Ggwe

Enyimba Za Kristo · Luganda
Present

Lyrics

Font size:
[1]
Nalyoka ne nkusenga gwe,
Omulokozi Katonda,
Kye nvudde nsanyuka nnyini.
Ne njatula bwe nsanyuse.

CHORUS
Nsanyuse, Nsanyuse;
Yesu yannazako ebibi.
Y(e) anjagaza by'ayagala;
Ansanyus(a) ennaku zona;
Nsanyuse, Nsanyuse,
Yesu yanazaak(o)ebibi.

[2]
Namusenga n'atangoba;
Nze ndi wuwe, Naye wange;
Yampita ne nditegeera
(E)ddoboozi lye nga lya Yesu.

[3]
Edda nasagasagana,
Kakano nteredde ku ye:
Sikyamusenguk(a); alina
Mukama y'alina byonna.

[4]
Nalayira nti ndi wuwo
Nakyogeranga bulijjo.
Era bw'alidda Mukama,
Ndisanyuk(a) okub(a) owuwo.

Support My Songbooks

Help us expand our library and keep the music alive for everyone. Even a small donation goes a long way.

Buy me a coffeeBuy us a coffee