Ggwe Omukuumi Mbuulira

Song Lyrics

Ggwe Omukuumi Mbuulira

Enyimba Za Kristo · Luganda
Present

Lyrics

Font size:
[1]
Ggwe omukuumi mbuulira,
Obudde buli kumpi?
(O)bubonero bw'okujja kwe,
Bwo bwali bulabise?
Yesu alijja amangu?
Emmambya yiiyo asala?
Wesibe ebyambalo byo,
Golokoka bukedde.

[2]
Omusana gweyongera,
Okwaka mu kkubo lyo;
(O)bubonero buli wantu,
Obulaga (o)kujja kwe.
Ekondere nga livuze,
Banazukuka wonna;
Ababe bonna abaafa,
Nga bambadde (o)butafa.

[3]
Omusana gujja mangu,
Sabbiti ya Jubiri
Bonna bogera wamu nti
Obwakabaka bujje.
Weewawo owoluganda,
Kanani yaffe ejja;
Ne Yerusalemi kijja
Nga kyakayakana nnyo.

[4]
Laba Kibuga kya zabu,
Atudde ku ntebe ye
Kabaka ow'ekitiibwa,
Afuga ensi zonna.
Ku nsozi ez'omusana,
Ogwak(a) obulungi ennyo;
Ku migga egy'ekitiibwa
egibunye (e)bimuli.

[5]
Ensi yaffe esembera,
Ey'emirembe (e)nnungi;
Eri kumpi nga nnugi nnyo!
Tunatuulanga omwo.
Wulira ennyimba (e)nnugi.
Ziwulirwa mu bbanga;
Abantu bangi bayimba,
Tunatera (o)kutuuka.


Support My Songbooks

Help us expand our library and keep the music alive for everyone. Even a small donation goes a long way.

Buy me a coffeeBuy us a coffee