Fuga Obulamu Bwange

Song Lyrics

Fuga Obulamu Bwange

Enyimba Za Kristo · Luganda
Present

Lyrics

Font size:
[1]
Fug(a) obulamu bwange,
Ggwe Yesu, Kabaka,
Ggwe omagezi gange,
Mu byon(a) ebinnema;
Yesu, beeranga my nze,
Mu byonna bye nkola,
Mbere ng(a) endabirwamu,
Ndage (e)kitiibwa kyo.

[2]
Ka mbeere yekalu yo,
Omutali kibi,
Ekitiibwa kyo kyonna,
Nga kyeraga mu nze;
Ebyensi ka mbiveko,
Okuva kakano
Mbeere muddu wo ddala,
Nkole by'ondagira.

[3]
Ayi Yesu, nze nzenna,
Ka mbeeranga wuwo,
Nkozesa by'oyagala,
Sikyali ku bwange;
Bulijjo nettanira
Kulu'ngamizibwa,
N'okulongosebwa Ggwe,
Mu mutima gwange.

[4]
Naye kannewombeke,
Mu biseera byonna
Nga nnind(a) okuteesa kwo,
Ggwe nga bw'oyagala;
Fug(a) obulamu bwange,
Yesu, Ggwe Kabaka,
Ggwe amagezi gange,
Mu byonna bye nkola.

Support My Songbooks

Help us expand our library and keep the music alive for everyone. Even a small donation goes a long way.

Buy me a coffeeBuy us a coffee