Bye Tukuwa Biva Gy'oli

Song Lyrics

Bye Tukuwa Biva Gy'oli

Enyimba Za Kristo · Luganda
Present

Lyrics

Font size:
[1]
Byetukuwa biva gy'oli,
Newakubadde nga bingi;
Bibyo byonna bye tulina,
Birabo by'otuteresa

[2]
(O)tuwe (e)kisa tuberenga
(A)bawanika b(o) abesigwa,
Nga twesoloza n'omwoyo
Ku bintu bye tuli nabyo.

[3]
(A)mawanga gonn(a) ag'omu nsi
Getaaga nny(o) Omulokozi;
Abantu be yafirira
Bawab(a) era basasana.

[4]
Gye mirimu gyaffe fenna,
(O)kukomyawo abakyama;
(O)kunoony(a) ababula, era
(O)kujjanjab(a) abafiiriddwa.

[5]
Bwatyo Yesu bwe yakola,
Ne yewaay(o) okubawonya;
Naffe tumugoberere,
Abonoonyi balokoke.

[6]
Yesu yatuyigiriza,
Ebyo bwe bimukolerwa;
Fenn(a) atunyikize wonna
(O)kugaba n'okwesoloza

Support My Songbooks

Help us expand our library and keep the music alive for everyone. Even a small donation goes a long way.

Buy me a coffeeBuy us a coffee