Bwe Tuba Ne Yesu

Song Lyrics

Bwe Tuba Ne Yesu

Enyimba Za Kristo · Luganda
Present

Lyrics

Font size:
[1]
Bwe tuba ne Yesu,
Nga tumugondera
Atuleeta mu kkub(o) eddungi.
Tukola by'asiima
Aba wamu naffe
Era n'abo abamwesiga.

CHORUS
Tumwesige,
Tewali mulala,
Wabula Yesu yekka,
Oyo gwe twesiga.

[2]
Tewali nzikiza
Tewaba mulala,
Omusana gwe gutwakira;
Okutya kuggwawo,
Tewaba kwekanga,
Aba naffe bwe tumwesiga.

[3]
Tukola lwa ssanyu
Naye si lwa nnaku;
Yesu alituwa empeera,
Ka tube besigwa,
Ka tumugondere,
Emikisa gye gibe ku ffe.

[4]
Tetunategeera
Kwagala kwe kwonna,
Okutuusa lwe tulyewaayo,
N'atuwa ekisa.
Era n'okwessima,
Ne ku bonn(a) abamugondera.

Support My Songbooks

Help us expand our library and keep the music alive for everyone. Even a small donation goes a long way.

Buy me a coffeeBuy us a coffee