Bwe nfun(a) eddembe

Song Lyrics

Bwe nfun(a) eddembe

Enyimba Za Kristo · Luganda
Present

Lyrics

Font size:
[1]
Bwe nfun(a) eddembe
Mu bulamu bwange,
Oba bwe mbeera mu nnaku.
Onjigirize okukkirizanga,
Buli ngeri yonna mw'ontadde.

CHORUS
Mirembe, mirembe;
Mukama njagala mirembe.

[2]
Setani bw'aleeta ebikemo bye,
Yimusa essuubi lyange,
Nti Yesu alab(a)
obunafu bwange,
Era Ye atambula nange.

[3]
(E)kigambo kino
Kyokka kye nesiga,
Nti ebibi byange byonna,
Byakomererwa ku muslaba gwe,
Mukama Yesu yebazibwe.

[4]
Mukama ayanguye olunaku,
Olulibikkula byonna;
(E)ssubi liritukirira bw'alijja,
Ndimulaba Yesu n'amaaso.

Support My Songbooks

Help us expand our library and keep the music alive for everyone. Even a small donation goes a long way.

Buy me a coffeeBuy us a coffee