Bwe Ndimala Olugendo Lwange

Song Lyrics

Bwe Ndimala Olugendo Lwange

Enyimba Za Kristo · Luganda
Present

Lyrics

Font size:
[1]
Bwe ndimal(a) olugendo lwange ne ntuuka gy'ali,
Era nga nnyambadde 'ogutavunda;'
Omununzi wange ndimulaba nga bwali.
Era alinnyaniriza n'essanyu.

CHORUS
Ndimulaba, Ndimulaba,
bwe ndiyimirira nga ndokose,
Ndimulaba, ndimulaba,
(O)mulokozi eyanfiirira.

[2]
Bwe ndiraba ku maaso ge ndibeera n'essanyu,
Ndimwebaza lw'ekisa ky'(e) ekingi;
Okusaasira kwa Katonda tekusingika
Atusanyiz(a) ebifo mu maka ge.

[3]
Be twagala bwe batuvaako, tulin(a) essuubi,
Nga tubasiibula tujjukira nti:
Mu ggulu tulibalaba, awatali kabi,
Okusooka netaaga ndabe Yesu.

[4]
Ampe ekambalo kye ekyeru ng'anyingiza,
N'antuusa eyo etali kukaaba;
Gy'endibeera n'ennyimba ez'essanyu bulijjo,
Negomba nsooke nsisinkane Yesu.

Support My Songbooks

Help us expand our library and keep the music alive for everyone. Even a small donation goes a long way.

Buy me a coffeeBuy us a coffee