Bwe Bayita Amannya Gaffe

Song Lyrics

Bwe Bayita Amannya Gaffe

Enyimba Za Kristo · Luganda
Present

Lyrics

Font size:
[1]
Bwe bafuw(a) e'ngombe ya Yesu ng'ajjira ku bire,
Ku lunaku olwo (O)lwe'kital(o) ennyo;
Abatukuvu abali mu nsi bwe baku'ngana,
Bwe bayita (a) mannya,nange ndibaawo.

[2]
Tuliraba abafu mu Kristo nga bazukira,
Baliweebw(a) ekitiibwa kya Katonda;
Bwe bayita abaalondebw(a) okugenda mu ggulu,
Bwe bayita (a)mannya, nange ndibaawo.

[3]
Aboluganda, leka fenna tukole n'ammanyi,
Ka tubuulire abantu ku Yesu:
Mu kiseera si kinene alikomawo nate.
Bwe bayita (a)manya, nange ndbaawo.

Support My Songbooks

Help us expand our library and keep the music alive for everyone. Even a small donation goes a long way.

Buy me a coffeeBuy us a coffee