Bwalijja Mukama Waffe

Song Lyrics

Bwalijja Mukama Waffe

Enyimba Za Kristo · Luganda
Present

Lyrics

Font size:
[1]
Bwalijja Mukama waffe,
Okuyita gy'ali;
Abaamulindiliranga,
Abamwagala.

CHORUS
Ng(a) emmunyenye
ez'omubbanga,
bwe zaaka waggulu,
N'abo bwe balibeera,
Abagaalwa be.

[2]
Alikunganyiza w'ali,
abaana be, bonna,
Abanyikira nnyo wano,
(O)kumufaanana.

[3]
Abakopi n'abakulu,
abaagala Yesu;
Baliweebw(a)
empeera yaabwe,
Bwalikomawo.

[4]
Abaana abamwagala,
Alibalokola;
Ng(a) amayinja
(A)g'omuwendo,
Omungi ennyo.

Support My Songbooks

Help us expand our library and keep the music alive for everyone. Even a small donation goes a long way.

Buy me a coffeeBuy us a coffee