Buli Muntu Yenna Awulire

Song Lyrics

Buli Muntu Yenna Awulire

Enyimba Za Kristo · Luganda
Present

Lyrics

Font size:
[1]
Buli muntu yenna awulire
Ebigambo by'Omulokozi w'ensi,
Bunya wonna wonna nti
akkiriza, Alirokoka mu ye

CHORUS
Mujje nno gyendi
abakooy(e) ennyo
mulyoke muwummulenga n'essanyu;
Buli muntu ajja
namwaniriza,
Taligoberwa bweru.

[2]
Buli muntu yenna asembere
Oluggi (o)lw'omu ggulu
lugguddwawo,
Yesu ge mazima,
lye kkubo lyaffe,
Ekibalwisa kiki?

[3]
Buli muntu yenna ayagala,
Kye kigambo kya
Katonda atalimba:
Kale bannange,
tubuny(e) ettendo lye,
Atugabidde buwa.


Support My Songbooks

Help us expand our library and keep the music alive for everyone. Even a small donation goes a long way.

Buy me a coffeeBuy us a coffee