Awo Yesu Bwe Yatambula

Song Lyrics

Awo Yesu Bwe Yatambula

Enyimba Za Kristo · Luganda
Present

Lyrics

Font size:
[1]
Awo Yesu bwe yatambula,
Edda mu nsi entukuvu;
(A)bakyala Abayudaaya,
Baamusemberera.

[2]
Bajja nga bamuleetera,
abaana baabw(e) abato;
(A)bateeke mu mikono gye,
Baweebw(e) omukisa.

[3]
Naye abayigirizwa,
Ne babagobera ddala;
Nti temumuteganya nnyo,
Tubeegayiridde.

[4]
Bwe yalaba abato,
Yesu yalagira baadde;
Taayogera n'eggonjebwa.
'(A)bato bajje gyendi'

Support My Songbooks

Help us expand our library and keep the music alive for everyone. Even a small donation goes a long way.

Buy me a coffeeBuy us a coffee