Annu'ngamya Kya Ssanyu

Song Lyrics

Annu'ngamya Kya Ssanyu

Enyimba Za Kristo · Luganda
Present

Lyrics

Font size:
[1]
Annu'ngamya
Kya ssanyu nnyo,
Kigambo kya kujaguza;
Sijja kubula mu kkubo,
Kubanga ye annu'ngamya.

CHORUS
Annu'ngamya annu'ngamya,
Annu'ngamya n'Omwoyo gwe
N'egomba kuba mwesigwa,
Kubanga ye annu'ngamya.

[2]
Bwe mbera mu
nnaku nnyingi,
Bwe mbera mu ssanyu lingi,
Mu ddembe oba mu kabi
Annu'ngamya
N'omwoyo gwe.

[3]
Mukama, Nyweredde ku Ggwe,
Sigenda kwemulugunya:
Embera yonn(a) ensanyusa
Kubanga ye annu'ngamya.

[4]
(O)lugendo bwe lulikoma
Mu linnya lye nga mpangudde.
Ndiraba(a) amaaso ga Yesu,
Kubanga ye annu'ngamya

Support My Songbooks

Help us expand our library and keep the music alive for everyone. Even a small donation goes a long way.

Buy me a coffeeBuy us a coffee